Job 36

1Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

2“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,
nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
3 aAmagezi ge nnina gava wala,
era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
4 bEky’amazima ebigambo byange si bikyamu,
oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.

5 c“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;
w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
6 dTalamya bakozi ba bibi,
era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
7 eTaggya maaso ge ku batuukirivu,
abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka
n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
8 fNaye abantu bwe baba basibiddwa enjegere
nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
9 gn’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,
nti, beewaggudde,
10 haggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa
n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11 iBwe bamugondera ne bamuweereza,
ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,
era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12 jNaye bwe batamugondera,
baalizikirizibwa n’ekitala,
bafe nga tebalina magezi.

13 k“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.
Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14 lBafiira mu buvubuka bwabwe
era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,
n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.

16 m“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,
akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,
omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
17 nNaye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira;
okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
18 oWeegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa;
obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
19Obugagga bwo
oba okufuba kwo kwonna
binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
20 pTeweegomba budde bwa kiro
olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
21 qWeegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu,
by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.

22 r“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge;
ani ayigiriza nga ye?
23 sAni eyali amukubidde amakubo,
oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
24 tJjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye,
abantu gye bayimba mu nnyimba.
25Abantu bonna baagiraba,
omuntu agirengerera wala.
26 uLaba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe;
obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.

27 v“Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi,
agafuuka enkuba etonnya mu bugga;
28 webire bivaamu amazzi gaabyo,
enkuba n’ekuba abantu.
29 xAni ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire,
okubwatuka okuva ku kituuti kye?
30Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu,
era n’abikka obuziba bw’ennyanja.
31 yEyo y’engeri gy’afugamu amawanga,
n’agawa emmere mu bungi.
32 zEmikono gye agijjuza eraddu,
n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.
33Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja,
n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”
Copyright information for LugEEEE